Bwanjulula-Ttoonzi Ekkubo Ery'obunnajjere Ggugulo-Zzingu-Zziringula
Ekitabo kino Bwanjulula-Ttoonzi Ekkubo Ly'obunnajjere Erya Bassebikuuno Abatuukirivu kikwaatira ddala ku Kkubo ly'Abatuukirivu Abalamu abajja ku nsi mu buli mulembe nga bazze ng'Abanunuzi b'emyoyo naddala egyo egyambadde ebbala ery'obwomuntu. Kye kitabo ekisookedde ddala okunnyonnyola akawonvu n'akagga eri buli yenna atandika obutandisi okunoonya okuyiga, okumanya n'okutegeera engigiriza za Bassebikuuno ne Bannabikuuno abatatera kumanyika mu bantu abasinga obungi ku nsi kuno. Kittottola obulamu, ekigendererwa ky'okuzaalibwa ng'omuntu ku nsi, amakulu g'okufa, biki Omutendeke by'afuna mu kutendekebwa kuno era biki by'asinza atali mutendeke wa Kkubo lya Butuukirivu n'amasomo amalala mangi. Kyogera ku Bahindani-Mbalakativamu-Kkuulo mu byaama ebikusike nga y'enneekulungula y'emyoyo nga gigenda gyeserenga mu bitonde ebya buli ngeri okuviira ddala wansi eri mu bbumba oba ettaka, mu byuuma, mu mayinja ag'omuwendo, mu njazi, mu bimera, mu biwuka, mu binyonyi, mu byewalula, mu byennyanja ne mu bisolo okujja ate okufuna akakisa akatafunika okuzaalibwa ng'omuntu.
362 pages |