| | 
| Eby'Oluganda | Omuwendo | |
21 | 
|
Omwana Omulanda Omubangufu Ssenkerettanyi Wofissizakadde
Omwana Omulanda Omubangufu kiwandiikiddwa kiyambe abaana baffe Abalandassiira okukula nga bagunjufu ate ababangufu obulungi mu mpisa ennung'amu ezisaanidde abaana b'abantu Abalaamire b'Ebyama by'Ekkubo ly'Abatuukirivu ku mulembe gaffe guno omuzibu ogujjudde empisayisa n'obuyisayisa obukyafu obw'ekigwenyufu. Ekigendereddwa kwe kuyamba abaana baffe baleme kugwa mu mayisa mabi olw'empisa ezitali nnamule. Buli muzadde ayagaliza omwana we okukula obulungi nga wa mpisa ennungi ezimusaanyiza okusigala nga mwana Mulanda, asaanidde agulire omwana we ekitabo kino. Mu kugulira omwana wo ekitabo kino oba ogunjula Olulyo lwaffe lwonna n'Obutonde bwonna okutwalira awamu. Ku nsi kuno bwe kuba nga kuliko ekintu ekikulu ennyo ky'osobola okukolera omwana Abatuukirivu gwe baakukwasa okulabirira mu nnyumba oba mu makka g'emyoyo egikkidde mu bufumbo bwo, kye muyita amaka, kwe kweyambisa omukisa guno osomerenga omwana wo ebiri mu kitabo kino n'okumujjukizanga ng'abadde akola ensobi n'omubuuza nti ekitabo kyaffe "Omwana Omulanda Omubangufu" bwe kityo bwe kikugamba? Mu kiseera kino ng'abantu beeyongera kwonooneka buli lukya, kyetaagisizza nnyo okuwandiikayo ekitabo nga kino tusobole okutangira emiti emito enkya eginaatwala omulimu gw'Ekkubo ly'Abatangaavu mu maaso nga ffe tubadde tuvuddewo. Ekibuuzo kye tusaanidde okwebuuza ffenna ng'abazadde kye kino nti: "Omwana gw'osuza mu maka go oba mu nnyumba yo ddala mwana mulanda mubangufu mu by'amayisa ag'Obutangaavu? Olw'okusobola okwanukula ekibuuzo ekyo obulungi, weekwate ekitabo kino nga bukyali; oleme enkya bbiri okukifuuwa ng'okizza munda. Ssenkerettanyi ogumu ku mulimu gwayo kwe kutuwandiikiranga ebitabo eby'omugaso eri Olulyo lwaffe n'eri Obutonde bwonna.
136 pages
|
| $16.00 |
|
22 | 
| Ffiifiranfiire Omwoyo Gw’obwa Sserulanda Ekitabo Ekinnyonnyola Filosofiya w’Enkola y’Ebbanguliro-Katibu ey’Omwoyo gw’Olulyo Paramiinga-Bbulululansiya olwa Sserulanda Nsulo Yobulamu Bhuka B.M. Bijumiro-Jjumiro
Omwoyo gwa Ffiifiranfiire kinnyonnyola obukulu bw'okwesigang'ana, okuyambagana, okuziikagana, okwebikkulira banno omutima gwo obutabakisa kantu oba nsimbi oba bulwadde oba ekizibu ekikusuza ng'okukunadde; gwe mutima ogumu, emmeeme emu omubiri gumu n'Omwoyo ogumu ogw'Obwasserulanda Nsulo Yobulamu. Baaba Bhuka Bijumiro-Jjumiro ng'asinziira mu bigambo by'Omutuukirivu Omulamu Sserukoonoka Lubanda-Mikka-Ssebitalo Ssaabayimiransibo Bambi Baaba Baabuwee era Ssaababanzi w'Olulyo luno, akung'aanyizza by'ayize okuva ku Mununuzi w'Omwoyo gwe Oyo by'Azze ayogera ne by'Azze annyonnyola ku nsonga eno enkulu ennyo eri buli Mwana wa Sserulanda yenna gy'ateekeddwa okuyiga n'okutegeerera ddala okwo ssaako n'okugoberera enkola eno ey'Omwoyo gwa Ffiifiranfiire obulamu bwe bwonna; ate n'okugiyigiriza Abaana n'Abazzukulu b'Olulyo luno Olutukuvu bonna. Buli Mulanda ateekeddwa okubeera ng'ekitabo kino kimusula mitweetwe.
265 pages
|
| $24.00 | |
23 |

| |
Guggulanyi w'Omutima Gwange Ebitontome Bhuka Bijumiro-Jjumiro
Eddemeezi eridda mu ggulu liri mu ggwe Ggwe Lubiri mwebiri ebiri mu ggulu N'obwa ggulu Katonda bwonna buli mu ggwe N'ekkubo erikutuusa mu ggulu liri mu ggwe Noonya Ggulu akuggulire emiryango gy'eggulu Aba mulamu Katonda-Muntu gw'Olaba Oyo Gguluddene amanyi Obuvo n'Obuddo! Senguka Omukulembeze oyo atamanyi Kkubo Ajja kukuwabya laba akusuule mu luwonko. Akutuusa mu ggulu amanyiiyo mu ggulu Ne Ggulu Kitaffe naye abeera amumanyi Amakoona n'obusozi wamu gino emitendera Byonna budinda aba abikuba laba olwo ng'akutwala Kuba gy'asiiba ng'akiika eyo mu ggulu Ewa Ggulu-ddene mu Makanda gali agata-koma. Eggulu liyingirwa ng'okyali mulamu ku nsi Ng'Omukulembeze Omununuzi akukutte ku mukono Y'oyo Kigambo ddala ayeefudde Omuntu Anaakusomosa akazooba-ka-Nnamuwanga kali Akaaku-tonderwamu luli olubereberye Kati akaazibikira olw'ebikolwa ebyo by'omanyi.
102 pages
|
|
| $14.00 | |
24 |

| Ekiwuubaalo ky'Ebbulang'ane Amabaluwa Ag'obuwabuzi Ssaabayimiransibo Omulamu Bambi Baaba Baabuwee
Ekiwuubaalo ky'Ebbulang'ane kivudde mu kukung'aanya amabaluwa agatali gamu Omutuukirivu Omulamu Ssaabayimiransibo Omulamu Ow'Ekitiibwa Ekitaliseebengerera Bambi Baaba Baabuwee g'azze awandiikira Abalanda abatali bamu ng'agenderera okubawabula n'okubalung'amya ku Kkubo ly'Obutendeke mu Kkubo lya Bassebikuuno Abatuukirivu Abalamu abaliwo kati, abaali babaddewo n'abo abalibeerawo. Mu mabaluwa gano omusomi ojja kusangamu obuwabuzi obw'omugaso ddala obutasangika walala era ojja kufunamu eby'okuyiga bingi nnyo ddala naddala ebyo ebijja okukuyamba ggwe kennyini obutagwa mu nsobi ze zimu ng'ezo abalamazi abalala ze bazze bagwaamu. Obuwabuzi obukirimu bukulu nnyo kubanga bukwaata ne ku nsonga endala ezibaddewo; gamba nga ku Kakiiko akaatekebwao Pulezidenti wa Uganda okunoonyereza ku Sserulanda Nsulo Yobulamu; obukulembeze bwayo, obwammembekedde n'emirimu egikolebwa aba Sserulanda oba gigasa abantu n'Eggwanga lyaffe oba nedda. Ekiwandiiko Omutuukiirivu Omulamu Ssebikuuno Bambi Baaba Baabuwee kye yawandiikira Akakiiko ako, kisange mu kitabo kino.
405 pages |
| $34.00 | |
| | < Okudda gy'ovudde | Ebitabo Ebirala >> | | |