ZenithGold Publishers

The Esoteric Light of the Planet

Home
About Us
Bookstore
English Publications 1
English Publications 2
English Publications 3
English Publications 4
Luganda Publications 1
Luganda Publications 2
Luganda Publications 3
Luganda Publications 4
Luganda Publications 5
Luganda Publications 6
Luganda Publications 7
Childrens Books
Free Excerpt Samples
Affiliation
Contact Us
Site Map
Mail
Ebifulumye mu Luganda 

 
 

Eby'Olungereza 

 

Omuwendo

 

 17

 

     

      Obumanyi Bukira Obuyivu Abaffe Ani Muntu   

                                  wa Mizimu                           

Bhuka-Bijumiro-Jjumiro

 

Ebbaluwa eno ya Lwaatu. Bannayunganda bannange mwenna, nkutte ekkalaamu eno okuwandiika ebigambo bino nga nnyanukula ebyo ebyayogerwa Mwami Moses Solomon Male owa Arising in Christ bwe yali ku mpewo za Radio Ssimba eng'anzi amale ategeeze ensi ng'Omutuukirivu Omulamu Ow'ekitiibwa Ekitaliseebengerera Bambi Baaba Baabuwee bw'Ali omuntu w'emizimu. Ekigendererwa kyange kwe kutangaaza ensi n'Abatonde mwenna abagirimu abategeera olulimi luno oba abo be musobola okunnyonnyola amazima oluvannyuma lw'okusoma bino. Ku Sunday nga 19, 2006, Mwami Male yavumirira Omutuukirivu Oyo n'Omulimu gwe mu nsi. Ekigendererwa kya Male okwogera bw'atyo, yagezaako okulaga ensi ng'Omutangaavu Oyo Omulamu bw'Ali omuntu wa Sitaani, mbu atamanyi Mukama Katonda era atategeera Yezu Kristu n'Obukristu oba obukristaayo. Eri Mw. Male omuntu yenna atali Mulokole nga ye, oyo aba muntu wa mizimu na sitaani. Mu ngeri nno y'emu eyo ne Bakabona Abayudaaya abaaliwo ku mulembe gwa Yezu Kristu nabo Yezu Kristu bwe batyo bwe baamuyita Beelzebub, ekitegeeza Kabaka w'Amasitaani.

 

148 pages

 

 $17.00


 18

 

 

 

Obuzzulula-Nsussiro Mmingitaggu Bugendulula-Gye-Bulisensulwa             

Abalandassiira Abaana ba Sserulanda

 

Ekitabo kino kwe kulayira okutongole okw'Abantu abayitibwa Abalandassiira kwe baakola mu mateeka (Affidavit) nga bakowoola Omutuukirivu Omulamu Ow'ekit. Ekit. Bambi Baaba Baabuwee, Omubanzi w'Olulyo lwabwe okuva mu America okudda mu Uganda. Baawandiika nti: Mukama Kitaffe Sseggulumanda atuwadde omukisa ogutafunika okusisinkana, okumanya n'okutegeera nti ku nsi kuno kuliko omuntu omulamu alya, anywa, era alabika n'amaaso nga muntu ng'abantu bonna kyokka nga ye, si muntu-buntu wabula nga ye, yazaalibwa okuva mu buto bwe nga Sserukoonoka; ekitegeeza oyo azaalibwa ku nsi nga Muntu Mutuukirivu yennyini kawewa; oyo azaalibwa n'empayi ebbiri ez'obutonde obw'omu nda n'obwo kungulu. Nga bw'olaba ettooke oba ebibala ebirala ebikula nga bya nnamansasaana; ekitegeeza nti omuntu ono gwe twogerako yazaalibwa nga aliko ekiyitibwa Ejjoloole oba Ejjoba ery'enjawulo eriyitibwa Ebbalasima oba Embalasima eryakira mu buterengejjero bw'omu bbanga, bo baganda baffe Abangereza kye bayita Invisible Sun-disc of the perfect immortals. Era nga okusinziira kw'ekyo ky'ava ayitibwa Paramiinga Mmanga-Bbagima Bbalansimo Ssaabayimiransibo.


117 pages

 

 $15.00

 

 19

 


Obwasserulanda Akaserekete k'Obulaamire

Ssenkerettanyi Wofissizakadde

 
Obwasserulanda - Akaserekete k'Obulaamire, lye limu ku makula agalimu ensimbiro y'Olulyo lw'Abaana ba Sserulanda Abamera-Bamera Bamutakosa biramu. Kibuulirira Omulanda amakubo g'alina okuyitamu okwesigibwa balanda banne ng'Omulanda Munnalulyo Olutukuvu. Ekitabo kino kikuwa ggwe Omulanda enkola gy'olina okuyitamu okusigibwamu ensigo ey'obwesigwa tulyoke tukwesige ate tukusigemu ensigo ez'Obutukuvu ezinaabeera ez'omugaso eri Abatonde bonna n'Obutonde bwonna okutwalira awamu. Si buli yenna ayeeyita Omulanda nti ddala abeera Mulanda. Omulanda yennyini ateekwa okuba nga agoberera ebyo ebiri mu kitabo kino okwo gattako n'ebyo ebisangibwa mu bitabo ebirala ebitukuvu eby'Olulyo lwaffe naddala nga bino: Ggululo-Mulonsi Mmerengeya-Ssisimu, Bbangululo-Katibu Vviribuunsi Mmiringiya-Para Ttigima, Kakenkenule Mukalandi, Omwoyo gwa Ffiifiranfiire, Ssigimo-Bulikenku Emberengula-Miseeya Eky'Olungereza - Volume One and Two), Omwana Omulanda Omubangufu ak'Abalanda abakyali abato n'ebirala.

 150 pages

 


 $17.00

 20

 

 

 

Omulanga Mu Ddungu

Ssaabayimiransibo Omulamu Oweekitiibwa Ekitalisebengerera Bambi Baaba Baabuwee

 

Ensibuko y'Abazzukulu ba Kintu, ettu ery'omuwendo ery'Amagezi g'Obutangaavu. Emirembe n'essanyu gibeere eri abo abaliwulira ebigambo eby'omuwendo nga bino, Omuddu by'Asobodde okuwulira mu mutima ku lunaku luno olw'amakumi asatu mu olumu, omwezi guno ogw'omunaana ogw'omuwendo, nga gufundikirwa mu mwaka 1980, ensi yaffe yonna nga ejjudde akasiriikiriro sso ng'ate mulimu n'akayoogaano k'Obutamanya, nga abo abaana ba Ssebintu Sserulanda bali mu kaweefube ow'okunyiikira n'okwewaayo n'emibiri gyabwe n'okwagala kwabwe nga bagolokosa ennyumba ya Ssebintu eyali egudde ng'ebuzeeko n'omukweero gw'okugigolokosa. Ng'empagi luwaga yonna yamala dda okuliibwa enkuyege. Ng'akasolya konna kaayabika tekakyalimu Muwagizi. Ayi mmwe Bajjajja ab'Omuwendo okuviira ddala ku Butonde bwa Bassebintu n'eri abazzukulu ba Kintu ne Nambi ow'omuwendo - Amaanyi ag'Obutonzi agaagatta endyo zombi; Nnaalongo ne Ssaalongo, nga muwulira (era nga) mutunuulira omulimu guno ogw'Omuwendo ogukolebwa olw'okwefiisa n'okwagala okubeerera ddala aba wansi mu bwetowaze okutusaasira mu nsi yaffe okutukkiriza okusobola okutuggulirawo Ebyama bino eby'Omuwendo ebyalema abantu bonna. Ebyama eby'okusobola okumanya Ebikusike eby'omu nda mu nsi ez'ebule nebweya. Mazima ffe abatalina kye tumanyi ne tusobola okuweebwa omukisa ogwo, okusobola okuggulirwawo Ebyama bya Ssebintu, ebya Sseggululigamba Wanjuba Tagaana.

 

49 pages

 

 $11.00

 
 

 

< Okudda gy'ovudde

 

 

Ebitabo ebirala >>