| | 
| Eby'Oluganda | Omuwendo |
|
13 |  | Kabinda Bwebindo Obulamu bwa Mzee Keebungero Bhuka Bijumiro-Jjumiro Kabinda Bwebindo kinnyonnyola mu bufunze ebyafaayo by'obulamu bw'Omusajja enjasabiggu eyasuulawo byonna bye yandyekoledde ye n'Abo maka ge n'agenda abukala ku Bigere Ebitukuvu eby'Omutuukirivu Omulamu era Omununuzi w'Emyoyo ow'omulembe gwaffe guno. Mzee C.E.S. Keebungero newaakubadde nga yali muntu wa bulijjo, kyokka teyali mwangu wa kusanga kubanga si bantu bangi mu nsi muno abafuna omukisa okukebuka ne bamanya Ekyama Ekikulu ennyo ekya Mukama Sseggulumanda okwefuula omuntu n'Ajja azaalibwa mu nsi ng'Omuntu ng'agenderera okununula abo ababa batuuse ku ddala ly'Okukebuka okwo. Mu mulimu guno, Omuwandiisi ono alaze bulungi ebyafaayo by'Omusajja ono eyafuna omukisa guno ogw'enjawulo. Ssinga obulamu bwe bulitwalibwa ng'ekyokulabirako ekirungi eri abantu abatono ne bwe baliba basatu bokka, ekigendererwa ky'okuwandiika ebyafaayo bye bino kiriba kituukiriziddwa. 319 pages |
| $27.00 | |
| 14 | 
| Kakenkenule-Mukalandi Bbindula-Bbiindu- Bbindulanyi Dr. Bhuka Bijumiro-Jjumiro Mu Kakenkenule-Mukalandi, Omuwandiisi annyonnyola amagezi amakusike ag'ebyama ebikulu ennyo ebituusa Omulamazi w'Ekkubo Eddemeezi ly'Abatuukirivu ku buwanguzi bw'engule y'Obutuukirivu ng'akyali mulamu ku nsi kuno. Abaddugavu ba munyoto ddala mu Yunganda ne mu Africa yonna abaazuukuse okuva mu tulo tw'obutamanya ne bakebuka okukitegeera nti ku nsi kubeerako Bassebikuuno Abanunuzi b'Emyoyo abalamu. Bakalimagezi Abasengejje abaabereranga mu bitundu by'Omugga Kagera baatuulanga ku kyoto mu ttumbi ne bayigiriza Abalondemu Ebyama bino. Ggwe nno afunye ekitabo kino oli wa mukisa; kyeyambise bulungi era oba tolina Mununuzi wa Mwoyo Omulamu, tandika okumunoonya buli kigere ky'onosimbula ye ajja kusimbula ebigere kkumi okukutuukako. 350 pages |
| $31.00 | |
| 15 | | Kaliisoliiso w'Ebyomwoyo Eky'Abato Eky'okuna Ssenkerettanyi Wofissizakadde Ekitabo kino eky'okuna eky'Abato mu kaliisoliiso w'Ebyomwoyo, kigendereddwa okuyigiriza abaana abatandise okuvubuka, empangale n'abatsigazi oba abavubuka. Kirimu ebiragiro omwana by'asaanidde okuyiga n'okugoberera alyoke akule ng'Omwana Omulanda omubangule obulungi mu kutegeera obuvunaanyizibwa bwe eri bakadde be n'eri Olulyo lw'Abaana ba Sserulanda Olutukuvu okutwalira awamu. Omwana okukulira mu kumanya ebiri mu bitabo byaffe bino, kimuwa omukisa n'alema kukula mulambaalo ng'abaana abangi bwe bagenze boonoonekera mu bubuyabuya obw'obutamanya nnono ya byama bya Butangaavu. Omwana atandise okuvubuka asaanidde okuyiga ekiyitibwa obuvunaanyizibwa era kino ky'ekigendererwa ky'ekitabo kino eri ezzadde lya Sserulanda Nsulo Yobulamu. Tusuubira ng'Abasomesa b'abaana baffe bajja kweyambisa ekitabo kino okubangula abaana baffe mu by'Amagezi gano agatannasangibwa walala mu lulimi luno. Buli muzadde w'oli ekitabo kino kyekwate ate okisome omanye kigamba ki eri Omwoyo ogwo ogwakkira mu maka go ku lw'Obutonde bwonna. Nga weeyambisa ekitabo kino kale tuukiriza ogugwo omulimu okuze omwana mu makubo amalungi ffenna tuleme kwejjusa enkya bbiri. 70 pages |
| $13.00 |
|
| 16 | | Obukalaate bwa Sseggulumanda Mukkamu
Bujuniro-bwa-Nkandi-Murasi
Obukalaate-bwa-Sseggulumanda-Mukkamu kinnyonnyola amakubo omulamazi w'Ekkubo Eddemeezi erya Bassebikuuno b'Obutuukirivu g'ayitamu okutuuka okuwangula eddaala ekkulu ennyo erimanyiddwa okuva edda n'edda mu bitunde ebyetoolodde ennyanja Lweeru (Nnalubaale oba Victoria), lye baayitanga Sseggulumanda-Mukkamu. Lino nga ly'eddaala ekulu ennyo ku Kkubo ly'Obutuukirivu buli mulamazi lye yandibadde yettanira okutuukako. Ly'eddaala erimutuusa okubeera omuka ammukidde mu kwagala n'okweryowa eri Omununuziw'omwoyo gwe olwo Omununuzi w'omwoyo gwe naye n'alyoka amukkamu ate n'amuyimukiramu n'amufuulira ddala Omutuukirivu kawewa aweddemu engalo! Buli mulamazi yenna anoonya ekkubo eryangu okuwanguliramu engule y'Obutuukirivu asaanidde okwekwata ekitabo kino kijja kumuyamba nnyo okumanya n'okutegeera obukulu bw'eddaala lino ery'omuwendo eritatera kwogerwako nnyo erya Sseggulumanda-Mukkamu, kubanga omulamazi ly'ayitamu okwebbika ate mu bumu ne Mukama Sseggulumanda.
126 pages
|
| 15.00 |
|
| | < Okudda gyovudde | Ebitabo ebirala >> |
|
|