|
|
| Ebifulumye mu Luganda
| 
| Eby'Oluganda | Omuwendo |
| 9 |  | Ggululo--Mulonsi Amasomo Asatu Ow'ekitiibwa Ekitaliseebengerera Bambi-Baaba-Baabuwee Mu Ggululo-Mulonsi Amasomo Asatu, aganokoddwa okuva mu Ggululo-Mulonsi Mmerengeya-Ssisimu, Ssaabaganzi Ssaabayimiransibo Omulamu Ow'Ekitiibwa Ekitaliseebengerera Bambi Baaba Baabuwee atuwadde obugagga obuli mu kutulabula mu makowe agatali gamu ku nsonga enkulu ennyo ezikwata ku bantu Abatuukirivu abo ababa bali wakati waffe ng'abantu, tuleme okubeesittalako. Atuwabudde tuleme okweroga ffekka nga twekola ebitajjansa oba okwekwata mu nda mu ssomo ly'Ayise "Teweekolanga mu Nda." Okutubuulirira kw'Akoledde mu masomo gano gonsatule wamma kwa muwendo nnyo ddala kubanga abatonde bangi bagenda bakola ebintu nga tebamanyi nti bye bakola abalala ebitasaanira ate bijja kubafuukira amaddira ag'obulumi, ennaku n'okubonaabna, enkya-bbiri bajje bakaabe nkalyaki? Atulaze obuyinza, obumanyi n'Amaanyi Bassebikuuno mu Butangaavu ge babeera nago ag'Obwakatonda era n'atulabula okubeeranga abantu abeegndereza ennyo mu nkolagana zaffe nabo si kulwa nga tukifuuwa tukizza mu nda. 155 pages |
| $17.00 |
| 10 |  | Ggululo Mulonsi Mmerengeya-Ssisimu Omuzingo Ogusooka Ow'Ekitiibwa Ekitaliseebengerera Bambi Baaba Baabuwee Ggululo-Mulonsi Mmerengeya-Ssisimu Kkula-Amakula Africa n'ensi yonna ly'efunye okuva mu kamwa k'Omutuukirivu Omulamu Sserukoonoka Paramiinga Mmanga-Bbagima Baransimo Ssaabayimiransibo Ow'ekit. Ekit. Bambi Baaba Baabuwee Omununuzi w'Emyoyo aliwo ku mulembe gwaffe guno. Ky'ekitabo ekitasangika mangu eri buli mutonde yenna oyo ali ku mwaliiro gw'ensi eno. Kijjuddemu amagezi ag'Ebyama Ebitukuvu eby'Ekkubo ly'Abatuukirivu era kirimu obuwabuzi, ebibuuliriro, okulabulwa, okulung'amizibwa, okutangaazibwa, n'okuwanibwa mu ngeri ey'enjawulo ddala eri buli nnamukisa oyo yenna alifuna luulu eno etenkanika. Ggululo-Mulonsi Omuzingo guno Ogusooka, gulimu enteregga za Bassebikuuno okutuuka ku luteregga 185 be ddu. Omuzingo ogw'Okubiri (Volume Two) gwo gulimu empayo ezisukka mu makumi asatu. Ggwe nno omutonde nnamukisa afunye ekiwaniko kino ekitukuvu kyekwaate okikuume okukirako akalera k'omwana ate okisome okimatire. Ky'ototegedde wandiikira Abawandiisi baakyo bakunnyonnyole osobole okuganyulwa okusingawo obulamu bwo bulyoke bubeere bwa mugaso ddala eri omwoyo gwo n'eri abatonde abalala bonna. 643 pages |
| $48.00 | | 11 |  | Ggululo-Mulonsi Mmerengeya-Ssisimu Omuzingo Ogw'Okubiri
Ow'Ekit. Ekit. Bambi-Baaba-Baabuwee Guno gwe Muzingo Ogw'okubiri (Volume Two) ogwa Ggululo-Mulonsi Mmerengeya-Ssisimu. Ggululo-Mulonsi Omuzingo guno gulimu empayo Omutuukirivu Sserukoonoka Lubanda Mikka Ssebitalo Bambi Baaba Baabuwee ze yaweeranga e Sseesamirembe ne ku kasozi Bazaanabaweeeza akasangibwa mu Ssaza ly'e Kabula era mu Ttwaale ly'e Rakai. Mu mpayo zino ojja kusangamu ebyama bingi eby'ekitalo ebikwata ku byama by'Abatuukirivu n'Ekkubo lyabwe Eddemeezi ate n'ebyo ebikwata ku Butonzi okutwalira awamu. Empayo zino ziwandiikiddwa nga bwe yaziwanga mu ddoboozi ly'akamwaake. Tuzigoloddemu katono olw'okutereezaamu wano na wali ng'ebyogerwa bwe birina okukyukamuko bwe biba bissiddwa mu nnukuta mu bitabo abasomi basobole okubitegeera obulungi. Ggululo-Mulonsi Omuzingo Ogusooka bw'oba nga tokifunanga, kinoonye okyegulire kubanga ojja kuganyulwa kinene nnyo mu kubeera n'Emzingo gyombiriri. Ebiwaniko bino bikulu nnyo kubanga bukyalubangalwammindi wonna mu Africa, temubangamu bitabo bibifaanana olw'amagezi ag'Obumanyi bw'Abatuukirivu agabiterekeddwaamu ku lulwo n'abazzukulu baffe yonna gye balibeera ku nsi kuno. 575 pages |
| $43.00 | | 12 | 
| Kaberengula-Bbanulo W'ebitone Dr. Bhuka-Bijumiro-Jjumiro Kabengulula-Bbanulo kinnyonnyola Ebitone Ebitukuvu Omusanvu mu bulamu bw'Omuntu yenna ayettanira okuyiga, okumanya, n'okwennyikizaamu Ebitone ebyo Omusanvu mu bulamu bwe. Ebiwandiiko si bingi ebinnyonnyola mu bujjuvu Ebitone Omusanvu mu ngeri yennyini ey'Ekkubo ly'Obutangaavu naddala mu lulimi luno. Ekitabo kino kyongedde obugagga bw'Ebyomwoyo mu Kkubo ly'Abatuukirivu mu lulimi luno Oluyunganda. Omusomi yenna anaafuna omukisa okwegulira ekitabo kino n'akiteeka mu nnyumba ye oba mu maka ge, anaaba yeefunidde ebbona ery'Obutukuvu n'emikisa eri Obulamu bwe obw'Omubiri n'Obwomwoyo. 350 pages |
| $30.00 |
|
| < Okudda gy'ovudde | Ebitabo ebirala >> |
|
|
| |
|