|  | Eby'Oluganda | Omuwendo |
|
5 |
| Ebbalangulo-Katetwe Ery'Ebyomwoyo ~ Ekitabo Ekisookerwako Bhuka Bijumiro-Jjumiro Ekitabo kino kivudde mu Buwabuzi bwa Ssaabaganzi Ssaabayimiransibo Ow'Ekitiibwa Ekitaliseebengerera Bambi Baaba Baabuwee bw'Azze atuwa ku nsonga y'okutandika okuyigiriza abaana baffe ebyama by'Ekkubo ly'Abayigiriza b'Obutuukirivu mu masomero gaffe Abalanda-Bamera. Amasomo abaana b'Ebbanguliro-Katibu ge bafuna mu by'Okuyiga ebya bulijjo kisaanidde gongerweeko engigiriza z'Abatuukirivu kibayambe okulung'ama obulungi. Kijja kubawa okumanya n'okutegeera nti bamanyi ebyo abantu abalala bangi bye batamanyi. Kijja kubayamba nnyo okwewala okugwa mu ttosi ly'ebikemo by'ensi beewalire ddala okutwalirizibwa abo abatamanyi bino. Kibawa omusingi omugumu ggulugulu obutatwalirizibwa ebyo bye balaba abantu bakola mu nsi oba okukopperera amayisa amabi okuva ku bantu abalala. Kiseera kya kwerongoosa myoyo gyaffe kubanga ensi ejjudde ebyonoono n'amayisa amakyafu agagenda gameruka okuva mu bantu mu mawanga agatali gamu kubanga tebamanyi Byaama bino.
149 pages | | $17.00 |
|
6 |  | Ebirombojje Ebikusike Amabaluwa Gange Eri Omutuukirivu Omulamu Lemiseerah-Khemisiye-Nnebuliva
Ebirombojje Ebikusike kirimu amabaluwa agaawandiikirwanga Omutuukirivu Sserukoonoka Lubanda-Mikka Ssebitalo Ssaabaganzi Ssaabayimiransibo Omulamu Ow'ekitiibwa Ekitaliseebengerera Bambi Baaba Baabuwee nga gava eri muwalawe Omulungi Lemiseerah Khemisiye Nnebuliva. Agamu ku mabaluwa ago gajjanga mu ngeri ya birombojje abantu bye basinga okuyita ebitontome. Mu mabaluwa ago Lemiseerah yayolesezaamu okwagala okungi okw'okweryowa kw'alina eri Omutuukirivu ono Omununuzi w'omwoyo gwe. Okuwandiika kuno n'okuggyamu ekitabo kyamuviira ku kiragiro ky'Omuyigirizaawe bwe yamugamba nti buli kiseera amuwandiikirenga obutakoowa ye ne bw'aba nga tamwanukudde era yamwanukulako emirundi ng'ebiri gyokka. Amabaluwa gano galimu eby'okuyiga bingi. Ekitabo kiggulwawo n'ebbaluwa eyali eraajanira Sserumalamawano okumusaasira olw'ebyonoono bye ebingi. Ekaabya amaziga ate n'eyamuddibwamu nayo bw'etyo ekaabya amaziga mu ngeri yaayo.
118 pages
|
| $15.00 | |
7 | 
| Ennimiro y'Obutangaavu - Okuwaya kw'Abalandassiira Bawanga-Mulamu Kyayittanya Mu kitabo kino eky'omuwendo, Baaba waffe Omwagalwa, Omulyowe Omwambuse Ssaabawayi Bawanga-Mulamu Kyayittanya atukung'anyirizza ezimu ku mpayo ze, ezo ze yatuwanga ku Nkulungo Y'okuwaya bwe yali akyakola nga Ssaabawayi w'Olulyo Olutukuvu olw'Abaana ba Sserulanda Nsulo Yobulamu. Omulimu guno yagukola okumala emyaka mingi bwe yalondebwa Omuyigirizaawe okwetikka eddimu ly'okuyigirizanga Abalanda ebyama by'Ekkubo ly'Obutangaavu. Mu mulimu guno atuwadde ebibuuliriro bingi okusobola okutunyweza obulungi ku Kkubo Eddemeezi; okukolagana obulungi n'Omununuzi w'Emyoyo Omulamu alabika n'amaaso ag'omubiri guno era n'okutwoleka obuzibu obusangibwa mu kwettanira ennyo ebintu-katoole eby'oluwunguko naddala mu katakku w'okubyesibako mu ngeri y'ekizibe ky'amaaso. Ekitabo kino buli omu asaanidde akyekwate. Kirimu amagezi ag'omugaso ddala eri buli Mulamazi yenna ayeettanira okuwangula engule y'Obutuukirivu. 269 pages |
| $27.00 | |
| 8 |  | Etteeka Ly'Ebimpaluse Ebibi
Dr. Bhuka B.M. Bijumiro-Jjumiro Etteeka ly'Ebimpaluse Ebibi linnyonnyola ebirowoozo ebibi ebitujjira mu mbeera ezitali zimu n'akabi akava mu birowoozo ebyo era ne lituwa amagezi okwewala amaanyi ago amabi agava mu mmeeme zaffe. Kalumanaywera ezisinga obungi n'omugugu gwazo abatonde gwe twetikka gutuviira ku butamanya kwefunga mu birowoozo byaffe mu mbeeraze tugenda twesangamu buli budde awo wonna we tuba tuli mu bbanga ly'Obulamu bwaffe eryo ku nsensimbe eno Mukasansi. Weegulire ekitabo kino omanye amakubo g'oyitamu okwewala kalumanywera enzito, okugwa mu bikemo n'okukola ebyonoono ebya buli ngeri. Kino kye kitabo buli Mutonde ky'atasaanidde kubulwako mu nnyumba ye. 180 pages |
| $19.00 | |
| < Okudda gy'ovudde |
Ebitabo ebirala >> |
| |