ZenithGold Publishers

The Esoteric Light of the Planet

Home
About Us
Bookstore
English Publications 1
English Publications 2
English Publications 3
English Publications 4
Luganda Publications 1
Luganda Publications 2
Luganda Publications 3
Luganda Publications 4
Luganda Publications 5
Luganda Publications 6
Luganda Publications 7
Childrens Books
Free Excerpt Samples
Affiliation
Contact Us
Site Map
Mail
Ebifulumye mu Luganda 
 

 

Eby'Oluganda 

 

 

Omuwendo

 


 1

  
ATUMIKA n'Amaanyi ag'Obulamu
Dr. Bhuka B.M. Bijumiro-Jjumiro 

Atumika kye kitabo ekinnyonnyola ebimu ku Byama Ebikusike ebyakwekebwa mu bigambo ebya bulijjo abantu abatonde aboogera olulimi luno bye twogera kumpi buli lunaku kyokka bye tutafangako kulowooza nnyo kwetegereza na kutegereza makulu n'Obugagga obubirimu.
 Bhuka Bijumiro-Jjumiro mu kukung'aanya ebigambo bino n'okubinnyonnyola amakulu agabirimu, agaabikwekebwamu, agaabisibirwamu n'agaabiterekebwamu akoze omulimu munene okwongera okwoleka obugagga bw'Olulimi luno eri abalwogera n'eri abo abaliruyiga mu mirembe enkumi egijja. Ekitabo kino kyoleka nti Olulimi luno wamma ddala lwe lumu ku nnimi enkusikire ddala olutegeerwa abo bokka abamaze okutendekebwa ne babangulwa mu Byama by'Ennono z'Obutangaavu.            

322 pages

 $28.00

    

 2

  

Bbangululo-Katibu Ow'Abato Eky'okusatu
Ssenkerettanyi Ekitongole ky'Ebyengigiriza

Bbangululo-Katibu Ow'Abato Ekyokusatu kikwata ku ntattwa ettaano ebitonde byonna na buli kintu ekirala kyonna ekirabika ku nsi okuva ku ttaka, ebyuma, endabirwamu, n'ebitonde ebirina obulamu byonna okuva mu nsolo, ebyennyanja, ebyewalula, ebinyonyi, ebiwuka, ebimera n'emibiri gyaffe ffe abantu byonna mwe bitondebwa. Entattwa naddala ennya ezisooka: ettaka, amazzi, empewo n'omuliro zinnyonnyoddwa bulungi eri abaana ku mutindo gwabwe bongere okuyiga ebikwata ku Butonzi bw'ensi ku ludda olw'ebyomwoyo. Olwo nno bagende okukula nga bamanyi era nga balina omusingi omugumu kwe banaasinziira okubanguka mu by'Omwoyo. Ekitabo kino kigulire omwana wo asobole okuyiga obulungi kaliisoliiso w'Abatangaavu ate oyongere ku bugagga bwa lweyubuliro y'amaka go n'ezzadde lyo.             

80 pages
  

 $28.00

   

3

 
 
Bbangululo-Katibu Vviribuunsi-Mmiringiya Para-Ttigima

Ow'ekitiibwa Ekitaliseebengerera Bambi-Baaba-Baabuwee


Ekitabo ekinnyonnyola Ebyaama by'Obukugu Mmerette-Kamerette Mmeenke-Kamenke w'Abassemakenke mu by'Amagezi g'Abakafulu-Ffuwuuke ag'Obumanyi Obukusikire ddala ebimaze obufukunya bw'emirembe egitabalika Yunga-Mikeeya-Kkeeya-Nkiye nga byabula ku bantu bonna abazze bazaalibwa ku Mukasansi (Planet Earth) sso nga eyo y'ensonga ebaleeta okuzaalibwa ku nsi kuno babinoonye kyokka baabuwa ne bibabula.

              

595 pages 
 

$45.00

4

 

 Bukukkuliro-bwa-Nkukkiro - Ddala Bambi Baaba Baabuwee Muntu Mutuukirivu?
               Dr. Buka Bijumiro Jjumiro                

Ow'Ekitiibwa Ekitaliseebengerera Bambi Baaba Baabuwee, ye Muddugavu yekka mu Uganda ne mu Africa ayogerwako ng'Omuntu Omuzaale Omutuukirivu Omulamu Sserukoonoka(Living Perfect Born-Saint). Bangi beebuuza ebimufaako; abamu nti akwaata emisambwa, nti agoba emizimu, abalala nti mulogo, n'abangi nti wamma ddala musajja Mutuukirivu Katetwe! Ekitabo kino kikuwa mu bufunze ebitono ennyo ebikwata ku muntu Ono atali mwangu wa kusanga mu nsi muno. Kyoleka Ebitone Ebitukuvu by'Alina, ne kiraga ebimu ku byewuunyo n'ebyamagero by'akoze era n'ebimu ku bigambo n'ebikolwa bye ebyoleka nti yandibeera Omutuukirivu era Ssaabanunuzi w'Emyoyo Nnakabala. Ggwe abadde yeebuuza ebimukwatako, ofunye ebbona ly'Ekitabo ky'otojja kusanga walala mu kiseera kino ate nga kiwandiikiddwa omuntu aludde naye ng'Amunoonyerezaako. 

450 pages

$35.00

 < Okudda gyoovudde
                               Ebitabo ebirala >